KAMPALA, (UG):- Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubiriza abakkiriza b’ekkanisa Enkatolika naddala abagagga okujjumbira ennyo purojekiti ezikolebwa mu makanisa gaabwe okusobola okuwagira emirimu gya Katonda mu ggwanga.
Okwogera bino, Ssaabasumba yaabadde akulembedemu miisa eyokujagulizako abagagga b’omu Kampala okuli omubaka wa Namibia mu Uganda H.E Godfrey Kirumira wamu ne Muky Teopista Nabbaale kwe beebaliza Katonda okuweza emyaka 62 egyobukulu.
Ngakulembeddemu miisa eyategekeddwa ku Kigo kya Our Lady & St Jude e Naggulu mu Kampala, Ssaabasumba yasiimye Kirumira ne Nabbaale olwokujukiranga omutonzi, era nasaba bagagga banaamwe obuterabira Katonda mu byona byebakola, saako nokuwaayo enyo eri ekkanisa.
“Bwobera omukodo mu nsimbi, totamira ssente, kubanga zibeerawo Katonda ngagamba nti oyo akyalina, naye bwasanga ngogyewo nowayo wano neri, ngakwongera.” bw’atyo Ssemogerere bwe yakkatiriza.
Ono era yasiimye abagagga abekibiina kya Kwagalana Amb Kirumira kyakulembera, naddala okusitukiramu okukola emirimu gy’eKelezia. “…naddala okusonda sente, buli wootuuka nti tugambe gundi, twegate, buli wamu mubeerayo, ate temutatwekweeka.”
Ye omugagga Kirumira, akulira ekibiina kya Bagagga Kwagalana yategezeeza nga bwatatera kukuza mazaalibwa ge, wabulu ku mulundi guno yakiriza okusaba kwa munne Teopista Nabbaale beegate kukabaga kano okusobola okuzimba ennyumba yomukama e Naggulu esuubirwa okutuuza abantu lukumu mubitaano (1500).
“Yantuuza wansi n’ankubiriza nti engeri gyetukuza olunaku luno ffembi, nti tugende tuzimbe ekkanisa ya Katonda, era bwetutyo kwekujja wano e Naggulu,” Kirumira bweyagambye, nakubirize bagagga banne obutakoowa kuzimba eKlezia wabula batandike nokuzimba ezaabwe ku bwa ssekinoomu okusobola okutukiza emirimu gya mukama.
Ye Muky Nabbaale yebazizza Katonda olw’obulamu bwe nemyaka gyatuseeko era n’asaba banne okufuba enoy okuyamba ku mirimu gy’ekkanisa ya Mukama okusobola okufuna omukisa ogusingawo, mu kifo ky’okuteeka ssente ku bintu ebitaliiko kyebigasa. ‘Mu kifo ky’okugenda ku zi bbiici, tukole ekintu nga kino [ekyo eky’okuzimba ekkanisa ya Katonda], era nsaba mikwano gyange n’abo beetabe mu mirimu gye kkanisa,” Nabbaale bwe yategeezeza.
Faaza Joseph Mary Buye, akulira ekigo kya St Jude Naggulu, yategeezezza abagenyi nga ekigendererwa ekikulu ekyakabaga bwe kyabadde eky’okukuŋŋaanya ssente ezokumaliriza ekizimbe ekiggya ky’Ekkanisa ekibalirirwamu obuwumbi mukaaga nobukadde bina nga kyakutuuza abantu abasoba mu 1500.
Faaza Buye, era yatubuulidde nti ekizimbe kino kisuubirwa okuggwa mu mwaka ogujja (2025) nti era balina essuubi nti abagagga bano wamu nabakirizia mubintu ebyenjawulo singa bakwatizako ekkanisa, ekirooto kino kijja kutuukirira.
Ambassada Kirumira, eyabadde omujaguza omukulu ku kabaga kano yawaddeyo obukadde abiri eri omulimu guno, ate ye munne Hajj Hamis Kiggundu nawaayo Shs10m, Dr Sudhir Ruparelia owa Ruparelia Group Shs5m, Joseph Yiga owa Steel and Tube Industries Shs10m, Omulamuzi Joseph Murangira (Shs 2m), Frank Ssonko (Shs 2m), ate Nabbaale eyabadde eyabadde amujagulizako nawaayo Shs 10m mumpeke.
Abagagga abalala abawaddeyo eri okuzimba ekkanisa kwabaddeko; Munnamateeka Francis Nshekanabo owa Nshekanabo and Advocates (Shs 5m), Steven Kalanzi Katabazi (Shs 5m), Hajj Badru Muwanga owa Luuka Plastics (Shs 5m), John Maurice Bagambe (ensawo za seminti 110), Freeman Kiyimba owa Buganda Twezimbe – Etoofaali (Shs 2m), George William Kajoba (Shs 5m), ate ye Dr Margaret Ssekidde owa Seroma Hardware Shs 1m.
Omulangira Charles Walugembe Mukasa n’omukyala we Annet Babirye baawaddeyo Shs 3m, Sarah Nkonge Muwonge awamu ne Sarah Mpungu Shs 2m, Andrew Mubiru Shs 5m, Ephraim Ntaganda Shs 1m, Winnie Mabirizi Shs 1m ne Mike Sebalu Shs 3m, n’abalala.
Wabula nga tebanagenda Naggulu, Kirumira wamu ne Nabbaale baasonze kukyalako ku Mapeera Bakateyamba e Nalukolongo, awalabirira abakozesa n’abaliko obulemu, eno nebawaayo ebikozesebwa ebyawaka wamu nebyokulya, noluvannyuma nakyalako ku biggya by’omugenzi Ssaabalabirizi eyasooka owa Kampala, Kalidinaali Emmanuel Nsubuga.
H.E Kirumira said his connection and attachment with the Mapeera Bakatayemba Village tracks way back to the times of Cardinal Nsubuga who played a very big role in his childhood and therefore giving back to the community is one of the ways he is paying back for the strong bonding between him and the Catholic home.
“Kalidinaali Nsubuga yali omu ku bankuza, era buli kiseera yatujjukizanga okuwaayo eri ku bakateyamba, ngera yensonga lwaki nzsanzewo nenzijja nsanyukire wamu namwe ku lunaku luno,” Kirumira yategeezezza mubimpimpi, naasubiza okudda ayongere okunyumya wamu nabakulira ekigo kino.
Sister Maria Matilda Nakiyaga, akulira emirimu mu maka gano, yasiimye Amba Kirumira olw’okusalawo okujaguza amazaalibwa ge wano, ekiraga omutima omulungi okuva eri omugagga awamu nakakwate ak’amaanyi ak’enjawulo kalina ku kifo kino.
Ensimbi ezisoba mu bukadde ebisatu nensawo za seminti 110 zezaakuŋŋaanyizidwa ku kabaga, era abagagga nebasuubiza okutuukirira bannaabwe okuddukirizako ekigo kino.
Do you have a story or an opinion to share? Email us on: [email protected] Or join the Daily Express WhatsApp channel for all the latest news and trends or join the Telegram Channel for the latest updates.